ABAANA ABATAMALAAKO P.7: Minisita Janet Museveni mwennyamivu
Ministule y'ebyenjigiriza etegeezezza nga omuwendo gw’abaana abalenzi abatatuuka mu kibiina kyamusanvu bweyeyongera bwogeraageranya nga bweguzze gubeera .
Obwennyamivu buno bulabikidde mukwogera kwa Minisita w'ebyenjigiriza Janet Kataha Museveni bwabadde afulumya ebyavudde mu bigezo by'ekibiina eky'omusanvu eby'omwaka oguwedde .
Ono era asabye Poliisi okukwata abo bonna abaayaambako abayizi okwenyigira mu muze ogw’okubba ebigezo by'omwaka oguwedde.