ABAANA ABAKUKUSIDDWA OKUVA E KASSANDA: Abaana abakukusiddwa okuva e Kassanda
RDC w’e Mityana Africano Aharikundira, ategeezezza nga bwekikkiriziganyiziddwako nti abayizi b'ekyomusanvu abakukkusiddwa okuva e Kassanda okuyingizbwa e Mityana balina okuyambibwa n’okutuula ebigezo by'ekyomusanvu wiiki ejja awatali kutaataganyizibwa. Abayizi bano baasangiddwa mu nnyumba emu mwebabadde bakukuliddwa olunaku lweggulo. Mu kiseera kino tekinnaba kutegeerekeka bayizi bano gyebatwaliddwa.