Aba FDC abaagawamira e Kenya: Gavumenti ebakomezzaawo
Waliwo bannakibiina kya FDC etuula e Katonga abawera 36 abaakwatiddwa ab’obuyinza mu ggwanga lya Kenya ne bakomezebwawo wano ku bigambibwa nti babadde bayingidde mu ggwanga lino mu ngeri etategeerekeka. Wabula bano bagamba nti baabadde bagenze mu Lusirika ku nsonga z’obukulembeze, kati bano bakwasiddwa ppoliisi yaakuno okwongera okunonyereza ku nsonga zaabwe.