“TETULINA MASANNYALAZE” :Ab’e Masaba e Busia basobeddwa, eddwaliro liri mu kattu
Abatuuze mu gombolola y’e Masaba mu distulikiti y’e Busia beekubidde enduulu olw'ebbula ly'amasannyalaze erimaza ebbanga mu kitundu kyabwe. Tukitegedde nti embeera eno ekosezza n'eddwaliro lya Mbehenyi Health Centre 3 eryo mukitundu kino nga n'eddagala erikozesebwa mu kukebera endwadde nalyo lyonoonese kuba lirina kukuumirwa mu firiigi. Bizineesi nnyingi eziyimiriddewo ku masannyalaze nazo zigotaanye olw'embeera eno.