Ogwa Nalukoola ne Nambi, kkooti etandise okuguwuliriza
Kkooti enkulu etaddewo olunaku lwa Mmande ya Sabiiti ejja, okusala eggoye ku bigambibwa nti Elias Nalukoola, omubaka wa Kawempe North aliko abajulizi b’oludda oluwaabi beyaguliride n’abazza ku ludda lwe mu musango ogumuvunaanibwa munna NRM Faridah Namb.Nalukoola ne Nambi baali ku mbiranye nnyo mu kalulu k'okuddamu okujjuza ekifo ky'omubaka wa Kawempe North wabula Nambi byaggwa tamatidde na bivuddemu, nga yebuuza engeri Nalukoola gye yamuwangulamu so nga ye yali akira.