“Mutukolere olutindo” ab’e Masindi beekubidde enduulu ku lwa tantara olwayonooneka
Abakulembeze n’abatuuze omu magombolola okuli Pakanyi ne Kiruli mu disitulikiti y’e Masindi bali mu kusoberwa oluvanyuma lw’olutindo olwali lubagatta ku bitundu ebirala okugwamu ekiviriddrko n’abantu okufiira mazzi kwossa abaana okuva ku by’okusoma. Bano kati baagala gavumenti ebaduukirire esobole okutaasa embeera.