Enkenyera mu nkalala z’abalonzi:Omubaka Nsibambi agenda mu kkooti
Omubaka wa Mawokota South Yusuf Nsibambi, atekateeka kwolekera kooti nga yemulugunya ku ngeri akakiiko kebyokulonda gye kakutte entekateeka z'okwetegekera okulonda omuli okuwandiisa abalonzi, okwekeneenya n'okutimba enkalala z'abalonzi. Ono alumiriza akakiiko k’eby’okulonda obutateeka mu kyapa kya gavumenti ebifo ebisoba mu lukaaga awalonderwa ng’agamba nti kino kigendereddwamu okulemesa abantu okulonda n’okuteekawo vvulugu.Kyoka akakiiko k’ebyokulonda kagamba nti ebifo ebironderwamu ebyogerwako batandise okulaba ngeri ki bwe bagegnda okulonda.