E Fort Portal omusuubuzi akubiddwa amasasi agamusse
Poliisi mu kibuga Fort Portal ebakanye n'omulimu gw'okuyigga abazigu abatannategeerekeka abakubye omusuubuzi amasasi agaamutiddewo olwo nebamunyagako ensimbi ze yabadde nazo.Tukitegedde nti Albert Magezi ono abadde kyajje asuubule ennyaanya ze yatunze mu butale obw'enajwulo e Fort Portal ne Bundibugyo nga kiteeberezebwa nti abatemu baamulonodde kuva mu butale buno.
Abatuuze no batubuulidde nti obulumbaganyi ku bantu ababa beetisse ssente enkalu bujja bweyongera mu Fort Portal wadde nga okutemula kw'emmundu tekubadde baana baliwo.