Dr. Besigye ne Lutale bakyawakanya eky’okukweka ababawaako obujulizi
Ebya Dr Kizza Besigye ne munywanyi we Obeid Lutale okuva mu kkomera kirabika byafuukidde ddala kuluma ku lw'e Namuganga kubanga ne leero omulamuzi abazizzaayo okutuusa nga 21 Omwezi ogujja.Bano babadde n'omujaasi Captain Denis Oola nga naye yagattibwa ku misango gy'okulya mu nsi olukwe egivunaanibwa ababiri.Okusalawo kuno kuddiridde oludda oluwaabi n'oluwawaabirwa okukisaba nga baagala kkooti enkulu esooke ewe ensala yaayo ku kusaba kw'oludda oluwaabi olwagala abajulizi abamu obujulizi babuweere wabweru wa kkooti awatali bantu, Besigye ne Lutale kye bawakanya.