Bobi Wine avuddeyo ku bya ‘Eddi Mutwe’: Ayagala kkooti emuyimbule awatali kakwakkulizzo
Akulira ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu atubuulidde nga bannamateeka baabwe bwe bawandiikidde kooti ekake ebitongole ebikuuma ddembe okulaga wa w’ebikuumidde omukuumi we Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddy Mutwe. Kiddiridde abantu abagambibwa okuba nga baali bakuuma ddembe okukwata Ssebuufu e Kiwango- Mukono mu gandaalo lya wiiki ewedde , nakati tanamanyikako gyali.