TUKOOYE KASASIRO: Abasuubuzi b'e Bulaga bavudde mu mbeera
Abasuubuzi mu katale k'e Bulaga mu disitulikiti y’e Wakiso bakedde kwemulugunya olw'akasasiro abamazeeko emirembe. Ekisinga okubaluma kwekuba nti basasula ensimbi z’okuyoola kasasiro ono kyoka n’atatwalibwa. Bbo abakulembeze mu town kanso eno bagamba waliwo abakuma mu basuubuzi bano omuliro okwekalakaasa.