Agnes Nandutu akkirizza eby’okutwala amabaati g’e Karamoja
Eyali minisita omubeezi owa Karamoja era omubaka omukyaala owa Buduuda Agnes Nandutu kyaddaaki akkiriza nti yatwala amabaati agaali agabawejjere b’ekaramoja nti era okugatwala yali agenderedde kugawa abali bakoseddwa okubumbulukuka kw’ettaka e Bududa.Nandutu ategezezza omulamuzi wa kkooti enkulu ewozesa abalyake nabakenuzi Jane Kajuga, nti amabaati gano agaalia gawera enkumi bbiri gamuwebwa minisita Mary Goretti Kitutu nekigendererwa ekyokuyamba abantu mu kitundu kye abaali bakoseddwa amataba n’okubumbulukuka kwettaka nga tebalina w’ebegeka luba.