Okulonda kw’akamyufu nga bwekubadde okwetoloola eggwanga
Mu district ye Kiboga,abalonzi okulonda bakuzize nga bagamba nti okulonda okuwedde naddala okwababaka ba palamenti abanakwatira NRM bbendera tebaafuna bwenkanya. Yo e Mityana embera ebadde nzikakamu wabula abalonzi ebyokulonda babadde nga abatabitegedde,tebakujjumbidde beesibidde ku mirimu gyabwe.Mu district ye Lwengo abasesimbyewo abamu balabye mu bifo gyebalondera obuwagizi butono nebatekako kakokola tondeka nnyuma.Katulabe okulonda kuno nga bwekutambudde mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.