Omuliro e Kacwankumu : Abasoba mu 160 tebalina wa kusula
Omuliro gusanyizaawo obuyumba bw’abantu abakungaanyizibwa e Kacwankumu mu Ntoroko abasengulwa amazzi oluvanyuma lw’okubooga kw’enyanja ya Albert. Mu kiseera akino abantu 160 tebalina wakusula wadde eky’okulya oluvanyuma lw’okufiirwa buli kimu mu muliro. Bano kati basaba gavumenti ebadduukirire.