Poliisi y'e Sembabule ekutte abantu 3 lwa kukuba balonzi miggo mu kalulu ka NRM ak'emiruka
Poliisi y'e Sembabule ekutte abantu basatu okuli ne ssentebe w’ekyalo nga ebavunaana omusango gw'okukuma omuliro mu bantu n’okukuba abalonzi emiggo mu kalulu ka NRM mu muluka gwe Bwegyero mu Ssaza ly'emiyaga. Enjuyi ezirwanagana kuliko olwa munnamagye Emmanuel Rwashande nomubaka wa Rwemiyaga Theodro ssekikubo.