Ssaabawolereza wa gavumenti ayagala ebyambalo by'amagye birambibwe bulungi
Ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka ayagala ababaka ba palamenti bateeke mu teeka lya UPDF eriri mu kukolwako enoongosereza nti ekintu kyonna eky’amagye kirina okulambibwa obulungi okulaga nti ky’amagye okuli Yunifoomu, enkufiira zaabwe, engato n’ebirala nga akabonero ak’okokubyawula ku birala. Kyokka agamba nti wadde nga kino kikoleddwa abantu balina okulabulwa okwewala ebintu ebyefanaanyiriza eby’amagye. Bino bibadde mu kakiiko ka palamenti akagatte akakyagenda mu maaso n'okwetegereza ebbago ly’eteeka erya UPDF