Akakiiko k’ebyokulonda kakakasizza People’s Front for Freedom [PFF] ng’ekibiina ky’eby'obufuzi
Akakiiko k’ebyokulonda kaludde ddaaki ne kakakasa People’s Front for Freedom [PFF] ng’ekibiina ky’eby'obufuzi ekyetongodde . Olwaleero ekibiina kino lwe kifulumiziddwa mu kyaapa kya gav’t ekitongole ekiyitibwa gazatte. Kati Abakulu mu PFF batubuulidde nti kino kyakubayamba okwetegekera obulungi akalulu ka 2026.