OLUTALO LWA UKRAINE NE RUSSIA : Russia ewambye ebibuga bya Ukraine
Ng’olutalo wakati wa Russia ne Ukraine luyingira olunaku olw’okumi n’omunaana, ebibuga bingi ebya Ukraine ebikubiddwa. Waliwo bannansi ba mawang agali okumpi ne Ukraine abatandise okwekalakaasa nga bagala Putin agye abasajja be mu Ukraine. Mu wiiki biri wasubirwa okubaawo okuteeseganya okulala wakati wa mawanga gano gombi.