OKUTUMBULA EBITUNDU BYA HALAL : Aba UNBS bakwataganye n'ettendekero lya IUIU
Ekitongole ekigatta amawanga g’abasiraamu munsi yonna ki ORGANIZATION OF ISLAMIC COUNTRIES kitandise kaweefube w'okusomesa abasiraamu mu mawanga ag’enjawulo ku ngeri gyebalina okukuuma omutindo ku bintu ebiriibwa n'ebikozesebwa abasiraamu.
Okusinziira kubano, ebintu bingi ebiteekebwa kukatale n'ebikozesebwa abasiraamu mubukyamu kyebagamba nti kikontana n'enzikiruza yabwe.
Bano bakolaganye ne n’ekitongole kivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebintu mu ggwanga ki Uganda National Bruae of Standards [UNBS] okutuukiriza kino.