Empaka z'amasomero: Standard High ne Bukedea ziyiseewo
Empaka z'eggwanga ez'omupiira gw'abalenzi aba siniya ziyingidde olunaaku olw’okuuna olwaleero, ku kisaawe kya Ngora High School. Mujimu ku mipiira ejizanyidwa olwaleero, tiimu ya Standard High School ekuubye High Way SS Kiganda goolo 1-0 , okuwangula omupiira gwabwe ogw’okusaatu mukibiinja C oguddiringana okuyitawo okwesogga round eddaako mu mpaka zino. Bo aba Bukedea Comprehensive bakubye Nabumali goolo 4-1 okumalira waggulu mu kibinja H, kububuneero 9.