Kkooti egaanye okusaba kwa Nambi okugoba abajulizi ba Nalukoola
Kkooti enkulu ewulira omusango oguwakanya obuwanguzi bwa Elias Nalukoola mu kulonda kwe Kawempe North egobye okusaba okwali kukoleddwa bannamateeka ba Faridah Nambi nga basaba nti basatu ku bajulizi ba Nalukoola kkooti ebagobe. Mu kusaba kwabwe baali bagamba nti abajulizi bano basooka kubeera ku ludda lwa Nambi oluvannyuma ne basala ekkerejje okudda ewa Nalukolola, kyokka bino omulamuzi abigaanye, nga agamba nti okusalawo kuno wakukukola nga awa ensala ey'omusango gwonna. Faridah Nambi aliko abajjulizi abawerera dala 22 baalese kyoka kkooti eragidde oludda lwa Nalukoola okusoya ebibuuzo abajulizi 10 boka, ekirese Nalukoola ne banne mukwemulugunya.