Ssekikubo ne RDC w'e Sembabule bakkaanyizza okumalawo mu NRM
Munnamagye eyawummula Brig. Emmanuel Rwashade ne munne bwe bali ku mbiranye Theodore Ssekikubo baliko enzikiriziganya gye batuuseeko okulaba ng’emirembe gibukala mu kitundu kyabwe Rwashande ne Ssekikubo n’abalala abeegwanyiza ebifo bya Palamenti mu disitulikiti ye Ssembabule babadde n’olukiiko okubiriziddwa RDC w’e e Ssembabule Jane Frances Kaggayi nga lugendereddwamu okumalawo obuvuyo obweyolekedde mu kamyufu ka NRM ku byalo ebyenjawulo