Manya amateeka: Bannamateeka balambulula ku ky'okutwalira amateeka mu ngalo
Ensangi zino, abantu beegulidde omuze gw’okutwalira amateeka mu ngalo, naddala nga bakutte ku agambibwa okuba omuzzi w’omusango.
Bangi bawa ensonga ez’enjawulo lwaki bakola kino, nga okusimba balumiriza abakuuma dembe obutakola kimala kukangavvula omuzzi w’omusango.
Kati mu manya amateeka olwaleero Prisca Namulema ayogeddeko nebannamateeka, ku songs y’okutwalira amateeka mu ngalo, n’akabaate akakirimu.