SC Villa ewangudde ekikopo kya Uganda Premier League
Kyadaaki kkiraabu ya SC Villa ewangudde ekikopo kya Uganda Premier League oluvannyuma lw'emyaka 20 nga tekiwangula. Bano bakubye kkiraabu ya NEC ggoolo 2-0 nga ziteebeddwa Charles Lwanga ne Hakim Kiwanuka ku kisaawe kya Phillip Omondi e Lugogo.