Abayizi abalala 24 basimattuse omuliro ku somero lya Al-Hijira primary and Nursery school e Njeru
Abayizi abalala 24 basimattuse omuliro ku somero lya Al-Hijira primary and Nursery school e Njeru mu disitulikiti y’e Buyikwe. Obudde nga buwungedde omuliro gw’akutte ekisulo kyabwe ekirungi bonna tebaabaddemu nga bagenze kusaala. Ebintu byonna ebyabadde mukisulo kin byayidde era nga kati poliisi yatandise dda okunoonyereza ekyavuddeko omuliro guno.