Owa UPDF eyatta omuntu kkooti enkulu yaakutandika okuwulira omusango
Kkooti enkulu mu Kampala etegezeezza nga bw'egenda okutandika okuwulira omusango oguvunaanibwa omuserikale wa UPDF Lt Isaac Lule ne banne okuli Jameson Musinguzi , Waiswa Ssekingo ne Gobeyima Setti abagambibwa okudda ku muntu nebamukuba emiggo egyamutta nga bamulanga kubba nte.Kigambibwa nti mu Gwokusatu mu 2023, abana bano, baatulugunya Sam Ssali omutuuze we Gayaza-Bulamu gwe baatebeereza okuba omubbi w'ente bw'atyo n'abafiira mu mikono.Babadde bamaze emyaka ebiri ng'ensonga yaabwe tewulirwa wabula ab'enganda z'omugenzi bafunye akaseko ku matama olwa kkooti okubawa essuubi ly'obwenkanya.