Rebecca Kadaga agamba akyalina by’atannamaliriza mu NRM
Eyaliko Sipiika wa Palamenti era nga ye mumyuka wa Ssaabaminisita asooka, Rebecca Alitwala Kadaga, agamba mwetegefu okuvuganya ne Sipiika wa Palamenti Anita Among ku kifo Ky’omukyala amyuka Ssentebe wa NRM mu ggwanga. Kadaga agamba eky’okuba nti gavumenti ya NRM ekyalina ebisuubizo bya bannansi byetannatuukiriza, kyekimwagaza okusigala okumpi n’omukulembeze w’eggwanga asobole okumujjukiza ku ky’okutuukiriza ebisuubizo bino. Kadaaga era yeekokkodde eky’abebyokwerinda okutulugunya abali ludda oluvuganya.