Abalimi b’emmwanyi ku byalo bitaano e Mubende beekubidde enduulu
Abalimi b’emmwanyi ku byalo bitaano e Mubende beekubidde enduulu eri wofiisi y’omubaka wa pulezidenti e Mubende olwa kampuni y’emwanyi eya Kaweeri Coffee plantation eno nayo erima mmwanyi gyebagamba nti ettwala emmwanyi zaabwe zebeerimira nga nezisangibwa mu lugya kampuni ekozesa basajja baayo nebaziyoola nebazitwala nga bagamba baazibye mu misiri gyabwe. Bano bagamba nti bangi kubo baali bakozi mu kampuni eno nga baafuna amagezi kunima y’emmwanyi ey’omulembe nga yabagabira n’endokwa z’okusimba wabula nga kyebewunya ye kampuni okweyisa bweti. Kino kyawaliriza okwekubira enduulu ew’omubaka wa pulezidenti mukitundu kino, naye eyayise olukiiko olw’amangu okusalirea ekizibu kino amagezi kyoka aba kampuni eno tebalabiseeko.