Waliwo abagamba si baakweetaba mu kamyufu ka NRM olunaku olw’enkya
Waliwo abawagizi ba NRM mu Disitulikiti y’e Kalungu abaweze okwesamba akalulu k’olunaku olw’enkya ng’entabwe eva ku bakulira eby’okulonda mu kibiina okulemererwa okungonjoola emivuyo egyali mu kamyufu k’ababaka ba palamenti mu disitulikiti eno. Bano balumiriza nti akakiiko tekaagoberera mitendera nga kalangirira Twaha Kiganda okwatira NRM bendera mu Kalungu West. Embeera yemu teyawukana n'ebiri e Lwengo, Kiboga ne Nakasongola ng'eno abeetaba mu kulonda kwa ssabiiti ewedde bangi bakyawakanya ebyavaamu.