Waliwo 4 abakwatiiddwa lwa kubba ba musigansimbi obuwumbi 17
Waliwo abantu banna ababde beeyita abakozi mu maka g’omukulembeze w’e ggwanga abaakwatiddwa nga balangibwa kukozesa lukujjukujju ne bagezaako okunyaga obuwumbi kkumi na musanvu okuva ku musiga nsimbi nga beerimbise mu kumukolera ebiwandiiko ebimukkiriza okukolera mu ggwanga. Bano baakwatiddwa abakakiiko ka State House Anti Corruption Unit - abaludde ebbanga nga babalinya akagere. Amyuka akulira akakiiko kano Isreal Ochwo atugambye nti bano akadde konna bakusimbwa mu mbuga z’amateeka babitebye.