Ssaabawandiisi wa East Africa akunze bankubakyeyo mu America
Omukago gwa East Africa gutandise okutema empenda ezinayamba bankuba kyeyo okukomawo eka basige ensimbi mu mawanga gyebaava. Banka yensi Yonna yakola okunonyereza okulaga nti bankuba kyeyo okuva mu mawanga ga East africa basindika obuwumbi bwa doola 15 mu mawanga ga East Africa buli mwaka. Ssaabawandiisi womukago dwa East Africa Dr Peter Mathuki atongoza kawefube W’okukunga bankuba kyeyo mu America okusiga ensimbi mu mawanga g’omukago guno.