Abaagobwa ku ttaka ly’e Kyangwali: abakulembeze b’e Kikuube bayise Museveni aziyingiremu
Abakulembeze ba district ye Kikuube basabye omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni okuvaayo agonjoole ensonga y’abatuuze ababundabundira okwo oluvannyuma lw’okugobwa wofiisi ya ssaababiminisita ku ttaka lyabwe ery’e Kyangwali emyaka 13 emabega ate nebatafunirwa wakubeera. Abakulembeze bano bagamba nti okubeerawo kw’abantu bano nabo kubalako emirembe kubanga empeereza nnyingi tezikyabamala nga n’embeera mwe bali si nnungi. Abantu bano bali eyo mu mitwalo mukaaga, nga baagobwa ku byalo 28.