OKUWANDIISA ABAPYA MU NUP: E Masaka ekiwayi kya Namayanja n’ekya Mpuuga tebikkaanyizza
Wabaluseewo okusika omuguwa ku by'okuwandiisa ba mmemba b'ekibiina ki NUP e Masaka oluvannyuma lw'ebikozesebwa mu kuwandiika okutwalibwa mu maka ga Meeya w'ekibuga Masaka Florence NamayanjaNamayanja yakulembera ekiwayi ekitakkiririza mu mubaka wa Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga ng'abantu be balemesezza aba mpuuga okufuna ebikozesebwa okuwandiisa ba mmembaAb’ekiwayi kya Namayanja bagamba tebagenda kuwandiisa bammemba be bateekakasa bulungi.