Okulonda mu NRM, e Lwemiyaga ne Mawogola West teri kukozesa butabo
Kitegeerekese nti ebitabo omuwandiikibwa amannya g’abalonzi ekiyitibwa Yellow books sibyakukozesebwa mu kulonda kw’ebyalo mu ssaza lye Lwemiyaga ne Mawogola West oluvannyuma lw’abannakibiina mu masaza gano okwemulugunya eri ekibiina nti enkalala zandiba nga zakwatiddwamu .Olunaku lw’eggulo kyategeeerekese ng’omuteesiteesi wa NRM e Lwemiyaga Boogere Matovu bwe yabuziddwawo n’enkalala z’abalonzi b’ekibiina mu kitundu kino so nga n’abesazza lye Mawogola West nabo baalaze okutya nti enkalala z’abannakibiina zandiba nga zakwatiddwamu .