DR. CHAPMAN KIGOZI: Emirimu aginnyuse, waakudda okwaboobwe gye yava mu 1979
Munnansi wa America Dr. Ken Chapman eyannyuse omulimu gw’okujjanjaba amannyo mu ddwaliro ly’e Mengo gwakoze okumala emyaka kati 45, kyadaaki yasazeewo annyuke mu butongole adde ku butaka gyeyasiibula mu mwaka 1979.Mu bbanga lyatabaganye ne bannayuganda , aboogerako nga abantu abaaniriza, abaagala omuntu awatali kakwakkulizo, kyoka nga balina obunafu mu kwanguyira endwadde ezibalumba.Wanyukidde nga eyajja nga ye Ken Chapma yafuuka Ken Chapman Kigozi.