Okulonda kw’ebyalo mu NRM kwa nkya, balabudde ku ffujjo
Webuzibidde olwaleero ng'enteekateeka z'okulonda obukulembeze bw'ebyalo munda mu kibiina kino NRM ko n'abanaakwatira ekibiina bendera ku bwa ssente be bw'ebyalo mu kalulu ka bonna, ziwedde.Abamu abakulembeze ba NRM mu bitundu gye tutuuseeko batubuulidde ng'ebitundu ebimu bwe watagenda kubeera kuvuganya oluvannyuma lw'ababdde beegwanyiza ebifo ookutuuka ku kukaaanya .Kyokka yadde guli gutyo eriyo ebifo ebisuubirwamu okuvuganya okwamaanyi .Bannakibiina balabuddwa obutetantala kukola ffujjo .