OKUKWATIRA NRM BENDERA :Museveni waakuggyayo empapula ku kya pulezidenti w’eggwanga
Tukitegedde nti president Museveni wakukima empapula ze ez'okwesimbawo ku kifo kya ssentebe w'ekibiina kye ki NRM wamu n'ezo ezimukkirizza okukwatira ekibiina bendera mu kalulu ka 2026 ku Lwomukaaga luno. Akulira akakiiko k'ekibiina kino ak'ebyokulonda Dr Tanga Odoi y'atubiddeko wakati mu kwewaana nga akalulu ka 2026 bwe bagenda okumenya mu jjenje ekkalu. N'olwaleero bannakibiina kino bongedde okuzzaayo empapula z'okwegwanyiza ebifo ebitali ebimu.