Kabadde kayisanyo ng’ekibiina kya NUP kikomekkereza enteekateeka abeegwanyiza ebifo
Akakiiko k' ebyokulonda mu kibiina kya Nup kakomekereza enteekateeka y'okusunsula abeegwanyiza ebifo ku kaadi y'ekibiina mu kalulu ka 2026. N'olwaleero wabaddewo katemba nga bannakibiina bazzaayo empapula ku kitebe ky'ekibiina ekisangibwa e Makerere - Kavule. Kyokka waliwo nabo Poliisi bekubyemu ttiyaggaasi nga bawerekera omuntu waabwe ku kitebe kino.