Bakkansala ba KCCA bakyalidde Eddie Mutwe ne banne
Bakkansala ba NUP mu lukiiko lwa KCCA balaze obweraliikirivu nti bannakibiina abali mu makomero e Masaka boolekedde okuvunidirayo olw’akeediimo k’abannamateeka akagenda mu maaso mu kitundu kino. Bano olwaleero nga bakulembeddwa Sipiika wa KCCA Zahara Luyirika bakyaliddeko banna NUP abali mu nkomyo E Masaka omuli n’e Edward Ssebuufu oba Eddie Mutwe eyakwatibwa gyebuvuddeko. Bano batubuulidde nti negyebuli eno Eddie Mutwe tannakyusibwa kutwalibwa mu kkomera lye Luzira okufuna obujjanjabi bweyetaaga.