Abeegwanyiza ebifo ku kkaadi ya PFF batandise okuggyayo empapula
Okuggyayo empapula eri abaagala okukwatira ekibiina ki PFF bendera ku bifo eby’enjawulo mu kalulu ka 2026 kutandikidde mu ggiya ku woofisi z’ekibiina ku luguudo lwa Katonga mu Kampala. Okusinziira ku b’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kino, enteekateeka eno yakugenda maaso okutuuka ku nkomekerero y’omwezi ogujja, wabula ng’abeegwanyiza ebifo ebyenjawula baakusasula ensimbi eziri wakati w’omutwalo n’obukadde obusatu.