Noah Mutwe ayimbuddwa ku kakalu ka bukadde butaano
Abooludda oluvuganya gavumenti bakyebuuza lwaki kkooti zibereka abantu baabwe ebisale by’engassi oba akakalu ka kkooti ebisukkiridde ate nga bangi tebayimiridde bulungi mu by'ensimbi. Kiko kiddiridde akakalu akasabiddwa munna NUP Noah Mitala eyeeyita Noah Mutwe ak'obukadde 5 nga zaabuliwo okusobola okuddamu okulya obutaala oluvannyuma lw'ebbanga nga atemeza mabega wa mitayimbwa. Mitala ono yakwatibwa ne Charles Twine eyali ayogerera ekitongole kya ba mbega ba poliisi ku bigambibwa nti baayogera ebigambo abisekeeterera sipiika wa palamenti n'omumyuka we, wamu n'omuduumizi w'amagye.