Msgr Magembe abadde akulira bukalango afudde
Ekyobeera kibuutikidde abakkiriza abakatolika naddala abamanyiddwa nga ba Charismatic,bwekikakasiddwa nti Monsignor Expedito Magembe abadde akulembera ekifo ky'ekeleziya omusabirwa ki Mt. Sion Prayer Centre afudde. Magambe afiiridde mu ddwaliro e Nsambya gyabadde amaze ebbanga ng’ajjanjabwa obulwadde nakati obutanamanyika. Ssaabasumba w'essaza ekkulu elya Kampala, Paul Ssemogerere akungubagidde musajja we.