Manya ebikwata ku nnongoosa eyitibwa laparascopy | OBULAMU TTOOKE
Bwe twogera ku kulongoosa abalwadde naddala abalina ebizimba mu lubuto, bangi ebirowooza biddukira ku kusala. Naye obadde okimanyi nti waliyo ennongoosa etaalimu kusala eyitibwa Laparascopy. Mu nkola eno abakugu bawummula obutuli obutono ennyo mu lubuto bwe bayisaamu akuuma okuli kkamera akayitibwa Laparoscope akabayambako okulaba ekitundu kye balongoosa olwo obutuli obulala ne bayisaamu obuuma bwe beeyambisa mu kulongoosa.