EMIVUYO KU TTAKA: Waliwo omusajja agguddwako emisango e Nakaseke
Joshua Mpabwa, Omusajja abatuuze ku kyalo Busoowa mu disitulikiti ye Nakaseke gwe baludde nga beemulugunyako olw’obuyigannyiza ku ttaka lyabwe, asimbiddwa mu kkooti era naggulwako emisango egyenjawulo mukaaga. Mu gino mulimu okusaalimbira ku ttaka eritali lilye, okubeera n’emmundu mu ngeri emenya amateeka, okwonoona ebirime kko.