Kkooti egaanye okugoba emisango gya Mukulu , obujulizi bwe tebusanzeemu nsa
Kkooti enkulu ewozesa bakalintalo egaanye Okusaba kwa Jamilu Mukulu okuyimbulwa ku bigambibwa nti yatulugunyizibwa ngakwatibwa bw’eyekenneenyeza obujulizi bwe yaleeta mu kkooti n’ekizuula nti tebumatiza. Mukulu ali ku misango gy’obutujju, ettemu, okugezaako okutta, obubbi n’okubeera mu kabinja K’abatujju era ngabadde mu nkomyo okuva mu 2015 lwe yakwatibwa okuva mu ggwanga lya Tanzania.