Katikkiro Charles Peter Mayiga yenyumiriza mu myaka 12 egy’obuweereza
Katikkiro wa Buganda Charlse Peter Mayiga anokoddeyo eky’Abaganda okukomya okwekubagiza ng’ekimu ku buwanguzi bwatuseeko mu myaka 12 gyeyakamala ng’akutte Damula. Katikkiro agamba nti ensangi zino Abaganda beekwatiddemu mu nkulakulana ya Buganda,ne bakoma okulowooleza mu bavujjirizi okuzza Buganda ku ntikko , songa ne mu nsawo yaabwe kati waliwo enjawulo.
Kyoka ono asekeredde abantu ab’olubatu baagamba nti ne kumulembe guno bakyefunyiridde ku kyokulaba nga banafuya enkulakulana etuukiddwako.