Emipiira Gy’ebika By’abaganda: Endiga 2-0 Enjovu
Tiimu y'ekika Ky’endiga yesozze enzannya z’ebibinja mu mpaka z’omupiira gw’ebika bya Baganda bw'ekubye Enjovu ggoolo 2-0 mu luzannya olw’okudding'ana olwa ttiimu 32. Mu luzannya olwasooka Endiga yakuba Enjovu ggoolo 3-2 nga bano bayitiddewo ku mugatte gwa ggoolo 5-2.