Katikkiro ayogedde eri olukiiko, avumiridde ekiwambabantu
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alaze obwennyamizu olw'ekiwamba bantu ekiriwo mu gganga era nalabula gavumenti ku katyabaga eggwanga k’ery’olekedde singa tenogera nsonga eno ddagala .Katikkiro bino abyogeredde mu lutuula lw'olukiiko olwenjawulo lwa Buganda mwategeerezza Obuganda ku mbeera nga bweri mu Bwakabaka .