Kassimu ssebudde eyawambibwa awamu ne Edward Ssebuuwu nga 27th omwezi oguwedde, amaze nazuuka
Kyadaaki Omuvubuka Kassimu ssebudde eyawambibwa awamu ne Edward Ssebuuwu nga 27th omwezi oguwedde, amaze nazuuka. Ono atubuulidde nti abadde akuumirwa mu kifo nakati kyatayinza kujjukira,kyokka mu kiro ekyakeesezza olwaleero abaamuwamba baamusudde okumpi neewuwe e Mukono. Akulira ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi agambye nti bino byonna bigendereddwamu kubamalamu maanyi na kubagobako bawagizi.