KANGAVVULA ABATULUGUNYA ABANTU: Aba NUP batadde Pulezidenti Museveni ku nninga
Ab'ekibiina ki NUP baagala Pulezidenti Museveni akangavvule ab’eby’okwerinda abatyoboola eddembe ly'obuntu nga bawamba n’okukuba be bamaze okukwata, abamu ne batuuka n’okufa - bagamba nti bw’anaakola ekyo, abantu banaakakasa nti byazze ayogera ku bakola ebikolwa bino abitegeeza. Abamu ku banna-NUP, abakulembeze ba gav’t ez'ebitundu mu Kampala n'emirirano nabo bategezeza nga bwe beegasse ku babaka ba Palamenti abaayimirizza emirimu okumala wiiki biri okutuusa nga bekikwatako bakze obweyamo obw’enjawulo okumalawo omuze ogw’okutulugunya